Isaiah 40:18-20


18 aKale ani gwe mulifaananya Katonda?
Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 bEkifaananyi ekyole omukozi akifumba,
n’omuweesi wa zaabu n’akibikkako zaabu,
n’akibikkako n’emikuufu egya ffeeza.
20 cOyo omwavu atasobola kufuna ffeeza
oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda
ne yenoonyeza omukozi omugezigezi
okusimba n’okunyweza ekifaananyi ekyole.
Copyright information for LugEEEE